Oluyimba 57: OMWANA-E BEESIREKEMU Lyrics
OLUYIMBA 15: OBUDDE BUZIBYE
1
OBUDDE buzibye
Enjuba-egenze
Enzikiza-ekwata
Mu bbanga ly’ensi.
2
Buli nsolo yonna,
Era n’ennyonyi,
Byonna biwummula
Byebaka-otulo.
3
Ayi Mukama waffe,
Ontunuulire,
Kaakano nkusaba,
Ompe-ekisa kyo.
4
Ebyonoono byange,
Binkwasa-ensonyi;
Naye-olw’ekisa kyo,
Tongoba w’oli.
5
Bwe neebaka-otulo,
Mu kiro kino;
Bamalayika bo
Bajje bankuume.
6
Ate bwe bunaakya,
Nga ngolokose,
Mbeere mu maaso go
Omulongoofu.
7
Nsabira-abalwadde,
Ne bannamwandu;
Obawe-omutima
Ogukwesiga.
8
Oweebwe-ekitiibwa
Gwe-eyatonda-ensi;
Ogulumizibwe,
Gwe-eyazuukira.
Leave a Reply