Hymn 56: EKISEERA KYE KITUUSE Lyrics

Oluyimba 56: EKISEERA KYE KITUUSE Lyrics

 

OLUYIMBA 149: OKWOLESEBWA KULUNGI
1
OKWOLESEBWA kulungi,
Nabbi kwe yalaba-edda;
Maloboozi ga kitalo
Olwo ge yawulira.

2
Mu yeekaalu ya Katonda,
Ng’atudde ku ntebe ye;
Bakkeerubi,Basseraafi;
Bayimba-Antifoona-eno:

3
Ekitiibwa kyo kinene,
Mu nsi-era ne mu ggulu;
Oweebwe-ekitiibwa kyonna,
Mukama Mutukuvu.

4
Mu ggulu bakyamusuuta,
Ne mu nsi ne baddamu
Nga bayimba:Mutukuvu
Mukama-ow’eggye lyonna.

5
Wamu ne Bamalayika,
Wamu n’Ekkanisa ye,
Naffe tumutendereze,
Naffe tumuyimbire.

6
Ekitiibwa kyo kinene,
Mu nsi-era ne mu ggulu;
Oweebwe-ekitiibwa kyonna,
Mukama Mutukuvu.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *