Oluyimba 54: NSANYUKIRA OLUYIMBA Lyrics
OLUYIMBA 147: MUKAMA OMUYINZA WA BYONNA,OMUTONZI
1
MUKAMA Omuyinza wa byonna,Omutonzi;
Ka mmutenderezenga Omulokozi wange:
Musembere
Abooluganda bonna,
Mujje tusinze n’essanyu.
2
Obufuzi bwe butenderezebwenga wonna:
Obw’oyo-akuuma n’ekisa,ayamba-obulungi:
Tolabanga?
Bw’anaakugabiranga,
Omwoyo gwo bye gwegomba.
3
Omwoyo gwange gwonna gumutende n’amaanyi
Abantu ne bamalayika bonna basuute:
Tuwulire,
Abantu bwe bayimba
Ennyimba ez’amatendo.
Leave a Reply