Oluyimba 49: KU LUNAKU LUNO Lyrics
OLUYIMBA 142: ENKYA BWE NZUUKUKA
1
ENKYA bwe nzuukuka,
Bwe mba ngolokose;
Nnasuutanga Katonda
Ng’amaaso galaba
Enjuba evuddeyo
Nnaasuutanga Katonda.
2
Ng’engoma-entukuvu
Ez’akawungeezi
Bwe ziyita-okusaba,
Kyenva njijukira
Obulungi bwe bwonna
Ne nsuutanga Katonda.
3
Bwe nkola-omulimu
Ogundagirirwa,
Nnaasuutanga Katonda;
Nga ntoowolokoka,
Nga nzannya-,oba nga ndya,
Nnaasuutanga Katonda.
4
Mmwe-abantu b’omu nsi,
Mmwe mwenna, bulijjo
Musuutenga Katonda
Bw’asaanidde yekka
-Okutenderezebwa;
Katonda-Ayinza byonna.
Leave a Reply