Oluyimba 44: OWANGE MUNNANGE, JJUKIRA,JJUKIRA Lyrics
OLUYIMBA 138: AYI KATONDA BWE NDOWOOZA
1
AYI Katonda bwe ndowooza
Ku bingi bye wampa,
-Emmeeme yange ne yeewuunya,
Era n’ekutenda.
2
Ne bwe nali nkyatondebwa,
Essanyu lyo-eringi
Walissa mu mwoyo gwange,
Ng’olimpa nze buwa.
3
-Omokono gwo gunnywezenga
Nga bwe nkyali-omuto,
Mpite mu buzibu bwonna,
Ntuuke mu bukulu.
4
Obulamu bwange mu nsi
Leero mbukwasa ggwe,
Era nga mmaze okufa
Ntuule-eyo mu ggulu.
5
Ggwe,Ayi ow’olubeerera,
Bwe ntyo nkuyimbira;
Kuba-ekitiibwa kyo kingi
Ekitatendeka
Leave a Reply