Oluyimba 43: MU BIRO-EBY’EMPEWO Lyrics
OLUYIMBA 137: ABANTU BONNA AB’ENSI
1
ABANTU bonna ab’ensi,
Mukama mumuyimbire!
Mumutye,mumuwulire,
Mujje mumusanyukire.
2
Mukama Katonda waffe
Ye yekka eyatutonda ffe;
ffe yatulonda,ffe babe,
Ffe ndiga z’oku ttale lye.
3
Muyingire mu nzigi ze;
Musemberere n’empya ze;
Erinnya lye lisinzibwe,
Mujje mumuvuunamire.
4
Mujje mweyanze bulijjo:
Kubanga ye mulungi nnyo;
Tegaliggwa-amazima ge,
Newnkubadde-ekisa kye.
Leave a Reply