Oluyimba 42: LEERO BAMALAYIKA Lyrics
OLUYIMBA 136: AYI GGWE KWAGALA,GGWE ASINGA BYONNA
1
AYI ggwe kwagala,ggwe asinga byonna
Tufukamidde okukusaba,
Abo b’ogasse okubeera-obumu
Babeerenga naawe ennaku zonna.
2
Ayi ggwe bulamu,obabikkulire
Okwagala okw’ekisa-ekingi;
Okukkiriza okunywevu ddala,
N’okwesiga ng’okw’omwana-omuto.
3
-Obasanyusenga bwe baba mu nnaku,
-Obawe-emirembe egitakoma;
Obawe-emikisa mu bulamu bwabwe,
Baagalanenga-emirembe gyonna
Leave a Reply