Oluyimba 41: OMWANA YAZAALIBWA Lyrics
OLUYIMBA 135: TUZZE GY’OLI,AYI KATONDA
1
TUZZE gy’oli,Ayi Katonda,
Katonda ow’okwagala;
Nga tubasabira bano
Obagatte wamu.
2
Bwe baba nga basanyuka
Olugendo nga lulungi,
Bakwesigenga ggwe wekka,
Mu ggwe babenga-omu.
3
Ne mu biro eb’ennaku,
Omuyaga bga gukunta;
Era bakwesigenga ggwe,
Obeerenga nabo.
4
Byonna ebiribajjira
Oba ssanyu oba nnaku,
Obawenga ekisa kyo
Obeerenga nabo.
5
Mu ndwadde ne mu bulamu,
Mu bwavu ne mu bugagga;
Okwagala kwo okungi
Kubeetooloolenga.
Leave a Reply