Oluyimba 408: MUJJE KU MBAGA Lyrics
OLUYIMBA 93: KABAKA MUKAMA WAFFE
1
KABAKA Mukama waffe
Atuyita ku mbaga ye;
Ategese ebya ssava,
Twanguwe okugendayo.
2
Kristo-okuyitako kwaffe
Omwana gw’endiga Yesu,
Eyaweebwayo ku lwaffe,
Tulyoke ffe tuwangule.
3
Kristo yava mu ntaana ye
N’obuwanguzi obungi
N’amaayi,okulokola
Ababi abamwesiga
4
Aleruuya, Aleruuya;
Osaanidde ekitiibwa,
Naawe Katonda Kitaffe,
N’Omwoyo Omutukuvu
Leave a Reply