Oluyimba 407: NDIDAYO MU GULU Lyrics
OLUYIMBA 92: YESU OMULOKOZI
1
YESU Omulokozi,
Azuukidde leero
Bwe mutyo mujaguze
Mmwe-abalonde mwenna.
Kristo Omuwanguzi
Nga takyafa nate;
Ye Kabaka,okufa
Tekukyamufuga.
2
Kale nno ka tukwate
Embaga-ey’essanyu,
Era tuggyewo mu ffe
Byonna-ebitasaana:
Ka tuleke eby’edda;
N’obubi eby’edda;
Tulye nga tusanyuka
-Emmere ey’omu ggulu.
3
Mmwe mwenna-abazuukidde
-Awamu ne Mukama,
Munoonye-eby’omu ggulu
So si eby’omu nsi
Kristo bw’alirabika,
Obulamu bwaffe,
Ffe tulirabisibwa
Fenna wamu naye
Leave a Reply