Oluyimba 406: WAALIWO EDDA OMUWALA Lyrics
OLUYIMBA 91: ALERUUYA! ALERUUYA!
1
ALERUUYA! Aleruuya!
Muyimbire Katonda;
Muyimuse-emyoyo gyammwe
Nga mujjudde nnyo-essanyu.
Yesu yatiibwa ku lwaffe,
N’ayiwa-omusayi gwe,
Okununula ffe-abantu,
Ye mulamu-,yazuukira.
2
-Amaanyi gonna-ag’emagombe
Yagamenyera ddala,
N’atuggulira oluggi
Lw’obulamu-obutaggwaawo-.
Yesu yava mu magombe;
Ffe ku bubwe tulivaamu-;
Ye yayingira mu ggulu;
Naffe tulituukayo.
3
Ggwe wazuukira,Mukama;
Ggwe-oli mwaka gye tuli:
Olunaku luli kumpi,
Naffe tulikungulwa.
Nga enkuba n’omusana
Bwe byengeza-ebibala:
Bw’otyo Yesu bw’otubaza,
Ebibala-ebirungi.
4
Aleruuya! Aleruuya!
Tukusinza,Kitaffe,
Naawe,Mwana,tukusinza,
Wakuwangula-okufa.
Naawe,Mwoyo,tukusinza,
Atuwa obutukuvu;
Aleruuya! Aleruuya!
Twebaze-Obusatu
Leave a Reply