Oluyimba 405: EKISA KYA YESU Lyrics
OLUYIMBA 90: YASULA MU NTAANA, MUKAMA WAFFE
1
YASULA mu ntaana,Mukama waffe
Ng’alinda obudde,-Omulokozi.
Yazuukira mu bafu,ng’abawangudd(e) abalabe
Yava mu magombe ng’omwanguzi
N’abeer(a) omulam(u) emirembe gyonna
Yeebale! Yeebale!
Yeebale! yazuukira.
2
Baakumira busa,Mukama waffe
Banywereza busa, -Omulokozi.
Yazuukira mu bafu,ng’abawangudd(e) abalabe
Yava mu magombe ng’omwanguzi
N’abeer(a) omulam(u) emirembe gyonna
Yeebale! Yeebale!
Yeebale! yazuukira.
3
-Okufa tekwayinza,Mukama waffe
Yamenya-ebisiba,-Omulokozi
Yazuukira mu bafu,ng’abawangudd(e) abalabe
Yava mu magombe ng’omwanguzi
N’abeer(a) omulam(u) emirembe gyonna
Yeebale! Yeebale!
Yeebale! yazuukira.
Leave a Reply