Hymn 390: AI MUKAMA MUSUMBA,OTUWE OLWEKISAKYO Lyrics

Oluyimba 390: AI MUKAMA MUSUMBA,OTUWE OLWEKISAKYO Lyrics

 

OLUYIMBA 77: BWE NDOWOOZA-OMUSAALABA
1
BWE ndowooza-omusaalaba
Mukama gwe yafiirako,
-Obugagga bwonna obw’ensi
Mbulaba nga tebuliimu.

2
Bwe ndaba-amazzi n’omusaayi-
Ebyava mu mbiriizi ze,
Ne ntegeera-okusaasira
N’okwagala kwe bwe kuli.

3
Yesu Mukama onkuume,
Nneme-okwenyumirizanga,
Kino kyokka kinsanyuse
Wanjagala n’onfiirira.

4
Singa mbadde n’ensi zonna
Ne nziwaayo Yesu gy’oli;
Zonna tezandisasudde
Ebbanja lyange-eryenkanaawo-

5
Naye ky’oyagala leero,
Era kye ndeese nze eri ggwe,
Kwe kwagala kwange kwona,
Nkuweereze,nkusanyuse.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *