Hymn 383: WAALIWO EDDA OMUWALA:YALAGULWA BANNABBI Lyrics

Oluyimba 383: WAALIWO EDDA OMUWALA:YALAGULWA BANNABBI Lyrics

 

OLUYIMBA 70: YESU FFE MU MAASO GO
1
YESU ffe mu maaso go
Tufukamidde leero:
Twatula-ebibi bingi
Amaziga ne gajja
Ku lw’okwagala-okungi
Okwakuleeta mu nsi,
Ng’oyima waggulu-ennyo
Yesu! otuwulire.

2
Ku lw’ekisa kyo-ekingi
Ekyakufuula-omwana,
N’obuzaaliranwa bwo
Bwe wafuuka omuntu:
Ku lw’okukemebwa kwo
Okw’entiisa mu ddungu,
Ng’oyima waggulu-ennyo,
Yesu! otuwulire.

3
Ku lw’okusaasira kwo
Bwe wanyolwa omwoyo
Ku ntaana ya Laazaalo,
Ne ku Yerusaalemi!
Ku lw’entuuyo-ez’omusaayi
N’Okusaba kwo-okungi,
Ngo’yima waggulu-ennyo,
Yesu! otuwulire.

4
Ku lw’okulumwa-okungi,
Ku lw’okusaba-okungi;
Ku lw’engule ya maggwa,
Era n’emisumaali,
N’effumu mu mbiriizi,
N’okukaaba-okw’entiisa,
Wawaayo-obulamu bwo;
Yesu! otuwulire.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *