Hymn 379: KATONDA ABEERENGA NAAWE Lyrics

Oluyimba 379: KATONDA ABEERENGA NAAWE Lyrics

 

OLUYIMBA 67: ABANTU ABAABEERANGA
1
ABANTU abaabeeranga
Mu nzikiza y’ensi
Omusana gubaakidde
Okugoba-okufa.

2
Watutikkula-emigugu
N’omenya-omujoozi,
Nga bwe wakola-omulabe,
Ku lwa Midiyaani.

3
Anaayitibwanga-erinnya
Kabaka-ow’amaanyi,
Kabaka ow’emirembe,
Katonda-omwagalwa,

4
Jjangu Enjuba-Entukuvu
Mulisa-ensi zonna;
Bonna bajjule-essanyu lyo;
Mu mitima gyabwe.

5
Omwana atuzaaliddwa
-Omwana-atuweereddwa;
-Obuyinza bwe bulifuga,
Mu ggulu ne mu nsi.

6
Buyinza bwe bulibuna
Mu mawanga gonna;
N’ensala ze ez’ensonga,
Za mirembe gyonna.

7
Kale Yesu,jjangu leero
Wamu ne Kitaffe;
N’Omwoyo Omutukuvu
Tufugire ddala

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *