Oluyimba 377: KATONDA OW’OKWAGALA Lyrics
OLUYIMBA 65: OTUBEERE MMUNYEENYE ENNUNGI
1
OTUBEERE Mmunyeenye ennungi,
Laga-ekifo Mukama gy’ali;
Oyakire mu nzikiza yaffe,
Tukwate-ekkubo-eridda gy’ali:
-Omununuzi ow’abantu bonna,
Kabaka,Omutonzi wa byonna,
Yeewombeeka ng’omwana-omuto.
2
Kale tumuwe eby’obugagga,
-Akaloosa-ak’omuwendo-omungi?
Oba kumuwa zaabu n’eruulu,
-Obuyinja obumasamasa?
-Obugagga tumuweere bwereere,
Asinga-okwagala emitima
Gy’abantu n’okusaba kwabwe.
3
Otubeere Mmunyeenye ennungi,
Laga-ekifo Mukama gy’ali:
Oyakire mu nzikiza yaffe
Tukwate-ekkubo-eridda gy’ali;
Twewombeeke nga Ye bwe Yakola,
Tweweeyo-olw’okubeera-abalala,
Tufubenga-okumufaanana
Leave a Reply