Oluyimba 376: KATONDA LWE LWAZI LWAFFE Lyrics
OLUYIMBA 64: MMUNYEENYE- EYAKIRA BONNA
1
MMUNYEENYE-eyakira bonna
-Abatambula-ekiro!
Otwakire otuwonye
Mu nzikiza yaffe.
2
Jjangu! Muwanguzi waffe,
Yolesa-amaanyi go,
Ensi zonna zikusuute,
Zikugulumize.
3
Leero-ebitonde byo byonna
Bikaaba bisinda,
Awamu n’emyoyo gyaffe
Nga tukusuubira.
4
Ggwe-eyeetikka-omusaalaba
Otuwonye-okufa.
Musuutwa waffe, labika,
Jjangu:tukwetaaga.
5
Labika n’ekitiibwa kyo,
Weetikkira-engule,
Naffe ne bamalayika
Tusinzize wamu
Leave a Reply