Hymn 375: TUSIGA-ENSIGO-ENNUNGI Lyrics

Oluyimba 375: TUSIGA-ENSIGO-ENNUNGI Lyrics

 

OLUYIMBA 63: ABAGEZIGEZI-EDDA
1
ABAGEZIGEZI-edda
Bwe baalaba-emmunyeenye
Baagiraba n’essanyu
Ne bagigoberera;
Naffe Yesu Mukama,
Twagala-okukulaba

2
Bo baagenda mangu nnyo
Okunoonya-Omwana-oyo;
Eyafuga-ensi zonna
N’akka ku lwaffe-ababi;
Bwe tutyo twanguweko
Tunoonye-Omulokozi.

3
Bo baawaayo-ebirabo
Eby’omuwendo-omungi
Ne babimutonera
Asinga bonna-ab’ensi;
Bwe tutyo naffe leero
Tweweeyo Yesu gy’oli.

4
Yesu ggwe-ennaku zonna
-Otukuumenga-olw’ekisa;
N’eby’ensi bwe biriggwaawo;
-Otutwalenga n’essanyu
Etabeera nzikiza,
Gy’olabikira ddala.

5
Mu nsi ey’omu ggulu
Tebeetaaga ttabaaza;
Ggwe musana n’essanyu,
Ggwe njuba eteggwaawo,
Yesu otutuuseeyo;
Tusuutenga-erinnya lyo

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *