Oluyimba 369: BAWEEREDDWA-ABAFU Lyrics
OLUYIMBA 58: ESSANYU LINGI MU GGULU
1
-ESSANYU lingi mu ggulu
Ennanga nga zivuga;
Era bamalayika
Bayimba nnyo mu bbanga.
Ekitiibwa kibe waggulu ennyo
2
Naffe abali mu nsi,
Ka tukube enduulu;
Nti wa la-la-la-la-la!
Ozaana waggulu-ennyo
Ekitiibwa kibe waggulu ennyo
3
Ka tuyimuse gy’oli
-Emitima gyaffe gyonna
Okwagala kwo kungi
Okwakuleeta mu nsi.
Ekitiibwa kibe waggulu ennyo.
Leave a Reply