Oluyimba 367: OMULOKOZI WAFFE Lyrics
OLUYIMBA 56: EKISEERA KYE KITUUSE
1
EKISEERA kye kituuse
-Ab’omu ggulu weebali;
Bonna batendereza nnyo
Nga bayimba bwe bati:
Ekitiibwa kibe eri Katonda
2
Abasumba bwe baalaba
Bamalayika bali
Nga bayimba oluyimba
-Olwali -olw’okujaguza:
Ekitiibwa kibe eri Katonda
3
Mu kiraalo bwe baagenda
Baamulaba omuto;
Bakkiriza nga ye Kristo,
Baamufukaamirira:
Ekitiibwa kibe eri Katonda
4
Naffe olw’okwagala kwe
Leero ka tuyimbe nnyo,
Tumutendereze -Omwana
Eyazaalibwa mu nsi:
Ekitiibwa kibe eri Katonda
Leave a Reply