Oluyimba 366: OBUDDE BWE BWAWUNGEERA Lyrics
OLUYIMBA 55: LABA -OMWANA AZAALIDWA
1
LABA -Omwana-azaaliddwa,
Okuva mu ggulu;
Laba azze ng’omuto,
Mukama w’abakama.
2
Kristo yeefeebya bw’atyo;
Bwe yafuuka -Omwana,
Mu kiraalo Malyamu
Gye yamuzazikira.
3
Kerode-omukambwe-ennyo
Ye yatya nnyo nnyini,
N’atuma abantu be
Ne batta-abaana bangi
4
Omwana Yesu,kye kisa,
-Ekituwaliriza
Okukwata-ekkubo-eryo
Eritutuusa gy’ali.
Leave a Reply