Oluyimba 365: EDDA MU NSI ABAYUDAAYA Lyrics
OLUYIMBA 54: NSANYUKIRA OLUYIMBA
1
NSANYUKIRA-oluyimba
Lwa bamalayika
Lwe baayimba okulanga
Okujja kwa Yesu.
Nze sirina bulungi,
Nnina-ebibi bingi;
Naye yakka ku lwange
Yesu Mulokozi.
2
Mmanyi Mukama waffe
Yafuuka omuto,
-Okulaga empisa ennungi
Ffe tuzikwatenga
Era bwe naafubanga
Okumufaanana
Ye tanneerabirenga,
Kubanga-anjagala.
3
Siyinza kumulaba
Kaakano n’amaaso
Naye ennyimba zange
Anaaziwwulira.
Bwe naamugonderanga,
Alintuusa-ewuwe
Ne mutenderezanga
Nga bwe kisaanidde.
Leave a Reply