Hymn 358: TULINA KABAKA WAFFE Lyrics

Oluyimba 358: TULINA KABAKA WAFFE Lyrics

 

OLUYIMBA 48: YE KIGAMBO WA KATONDA
1
YE Kigambo wa Katonda,
Kristo Yesu-Omwana we,
Ye n’afuuka omubiri
N’abeerako gye tuli
Ne tulaba omusana
-Okumulisa-enzikisa

Emirembe n’emirembe.

2
Eyatonda-ebintu byonna,
Era awataali ye
N’ekimu-ekyakolebwa;
Obulamu bw’ali mu ye
Atutukuza fenna;

Emirembe n’emirembe.

3
Bwe baalagira banabbi
-Ab’amagezi-edda n’edda,
Mu kitabo-ekyawandiikibwa
Esuubi lye ettukuvu,
Eyazaalibwa-okubeera
Omununuzi waffe;

Emirembe n’emirembe.

4
Nga Kitaawe bwe yatuma;
Yagutuusa-omulimu,
Yayigiriza,yawonya,
Yafa,-era yazuukira;
Era alifuga-abantu
Bonna nga Omuwanguzi;

Emirembe n’emirembe.

5
Kibuyaga n’emisana,
Ennimiro n’emigga;
Ebbugumu n’omuzira,
-Amayengo n’ebibira,
-Obulamu n’ebizinga
Binaasuuta-erinnya lye;

Emirembe n’emirembe.

6
Mwebaze mmwe-eby’omu ggulu
-Awamu n’ebyensi zonna,
Mmwe muyimbe abalonde
N’aboonoonyi muddemu
Buli olulimi lwonna,
Lwebaze ettendo lye ;

Emirembe n’emirembe.

7
Oluyimba olukulu!
Abakadde n’abato,
Abalenzi n’abawala
Banaayatula Yesu,
Era banaatendereza;
Ye Mulokozi waabwe,

Emirembe n’emirembe.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *