Oluyimba 356: TEMUYONOONANGA Lyrics
OLUYIMBA 46: EKIRO KYA SSEKUKKULU
1
EKIRO kyo Ssekukkulu,
Amaloboozi g’ebide
Gaavuga okutegeeza
-Amawulire ag’essanyu;
Okubuna-abantu bonna,
Azaaliddwa-Omulokozi.
2
Ebigambo eby’essanyu,
Ebya bamalayika-abo
Abaalanga okujja kwe,
Kabaka wa bakabaka,
Mukama ow’abakama;
Atenderezebwe bonna.
3
Kaakano Omulokozi,
Azaaliddwa mmwe gye muli;
Bamalayika bayimba
Nga balanga okujja kwe.
Mu ggulu era ne mu nsi
Emirembe gibe mu mmwe.
Leave a Reply