Hymn 353: MUKAMA WANGE NKWEBAZA Lyrics

Oluyimba 353: MUKAMA WANGE NKWEBAZA Lyrics

 

OLUYIMBA 43: MU BIRO-EBY’EMPEWO
1
MU biro-eby’empewo
E Beesirekemu;
Muwala omulongoofu
Yazaala-Omwana we.

2
Musanyuke mwenna
Muyimbe-ettendo lye;
Mujaguze, mujaguze,
Yesu azaaliddwa.

3
Yesu azaaliddwa,
Mu kisa kye-ekingi
Eggye erya bamalayika
Batendereza nnyo.

4
Abasumba bazze
-Okusinza Omwana-oyo;
Abalaguzi batona,
Mugavu ne zaabu.

5
Ne bamalayika
Baase-okulamusa
Omwana-oyo mu kisibo
Ye Mukama waffe.

6
Azze-okununula,
-Okuba -Omulokozi;
Azze- okuwangula-okufa,
Tasingika maanyi.

7
Azze n’okwagala,
-Okuleeta-omukisa;
Eri abantu be bonna,
Atuyigirize.

8
Oli mu kiraalo
Ggwe-eyava mu ggulu,
Amaggwa galifumita
Ekyenyi kyo, Yesu.

9
Naye ggwe-otwagaza,
-Ebigambo by’obulamu;
Era-otuyinzisa fenna
-Okukugoberera

10
Ka tumuweereze
Nga bamalayika;
Kale tusanyuke fenna
Azaaliddwa leero

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *