Hymn 352: KIGAMBO KYA MAGERO NNYO Lyrics

Oluyimba 352: KIGAMBO KYA MAGERO NNYO Lyrics

 

OLUYIMBA 42: LEERO BAMALAYIKA
1
LEERO bamalayika
Bayimbira Kabaka,
Azaaliddwa gye tuli,
Laba bwe yeetoowaza;
Ye afuuse omuntu,
Okutugulumiza,
Mujje ab’ensi zonna,
Okumutendereza.

Leero bamalayika,
Bayimbira Kabaka

2
Ffe tujje tumusuute,
Emanuweri waffe,
Omwana w’omuwala
Yesu Omulokozi!
Azze-omusana gw’ensi
-Okutumulisa fenna
Tuleme-okutambula
Mu nzikiza y’ekibi.

Leero bamalayika,
Bayimbira Kabaka

3
Kristo wa lubeerera,
Mukama-ow’ekitiibwa
Ye Kabaka yennyini
Azze-okubeera naffe;
Azze mu buwombeefu,
Mu ngeri ey’obuddu
-Okutufiirira fenna,
Tuleme okubula,

Leero bamalayika,
Bayimbira Kabaka

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *