Hymn 347: EBINY(U) EBIRUNGI (E)NNYO Lyrics

Oluyimba 347: EBINY(U) EBIRUNGI (E)NNYO Lyrics

 

OLUYIMBA 410: BWETULISIMBIBWA AWALI YESU
1
Bwe tulisimbibw/a awali Yesu)
Tunnyonnyol/e ebyaffe,)
Mukama Alituvunaan/a ebyo )
Bye twonoonye ku nsi.

Bw’alikoowol/a erinnya lyange (Aleruya)
Nze siritya kumuyitaba;
Kubanga nze yannaaza/a omwoyo(Aleruya)
Mu musaayi gwe.

2
Nze ndifun/a engule entukuvu
Ey’obulokozi
Era nze siriva mu maaso ge
emirembe gyonna.

Bw’alikoowol/a erinnya lyange (Aleruya)
Nze siritya kumuyitaba;
Kubanga nze yannaaza/a omwoyo(Aleruya)
Mu musaayi gwe.

3
Fenna abaligenda mu ggulu
Tuliwon/a ens/i eno;
Ebyonoono byaffe biriggwaawo
Lw/a amaanyi ge Yesu

Bw’alikoowol/a erinnya lyange (Aleruya)
Nze siritya kumuyitaba;
Kubanga nze yannaaza/a omwoyo(Aleruya)
Mu musaayi gwe.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *