Oluyimba 344: ABAANA-ABATO EDDA Lyrics
OLUYIMBA 408: MUJJE KU MBAGA
1
ENO mbaga ya ttendo,era nga ya Yesu;
Buli-omu yenna w’ali,kale-ajje ku mbaga;
Mujje gye ndi-abakooye,Nze nnaabawummuza;
Bw’atyo bwe yatugamba,ne leeero Ayita:
Mujje ku mbaga.-mwenna ku mbaga;
Yesu Y’afumbye leero,mujje mulye na Ye:
Mulye,munywe bulungi,
Mutwale ku mmere eteggwaawo.
2
Laba,Yesu-ayita mmwe mubeewo ku mbaga;
Munaawona ennyonta,mukyame ku mbaga;
Emyoyo egikooye anaagiwummuza;
Kale mujje-eri Yesu nammwe mweyanjule:
Mujje ku mbaga.-mwenna ku mbaga;
Yesu Y’afumbye leero,mujje mulye na Ye:
Mulye,munywe bulungi,
Mutwale ku mmere eteggwaawo.
3
Nammwe muleete bangi babeewo ku mbaga;
Baweebwe ku mmwere-eno,babeere mu ssanyu;
Mujje so temulwawo,olwa leero mbaga;
Mutambule bulungi,muyimbe n’essanyu:
Mujje ku mbaga.-mwenna ku mbaga;
Yesu Y’afumbye leero,mujje mulye na Ye:
Mulye,munywe bulungi,
Mutwale ku mmere eteggwaawo.
Leave a Reply