Oluyimba 340: LABA-OMUSUMBA-OMULUNGI Lyrics
OLUYIMBA 404: TULINDIRIRE OKUJJA KWA YESU
1
Tulindirire – Tulindirire-okujja-kwa Yesu-Omulokozi
Tulongooseze – Tulongoseze-Omwana-wa-Mukama oluguudo lwe
Ajje Yesu – Ajje Yesu atulokole
Liriba ssanyu,Yesu ng’atuuse,bw’atyo
N’atununula mu nsi eno ey’ekikolimo(Ky’okufa)
Lw’alizaalibwa Omwana,okuva mu ggulu gy’ali
Y’oyo ye yekka alitununula,tumukkirize
Y’oyo ye yekka alitununula,tumukkirize.
2
Twali mu kabi – Twali mu kabi bw’atyo-Mukama-n’atusaasira
Naatuukiriza – Naatukiriza-ebya-Nabbi Isaya bye yalagula
Nti oli alijja – Nti oli alijja ye Mulokozi
Liriba ssanyu,Yesu ng’atuuse,bw’atyo
N’atununula mu nsi eno ey’ekikolimo(Ky’okufa)
Lw’alizaalibwa Omwana,okuva mu ggulu gy’ali
Y’oyo ye yekka alitununula,tumukkirize
Y’oyo ye yekka alitununula,tumukkirize.
3
Lulikya lutya – Lulikya lutya ne-tumulaba-nga tuli naye
Tulijaguza – Tulijaguza -awali Mukama nga tuwangudde
Fenna ku olwo – Nti oli alijja ye Mulokozi.
Liriba ssanyu,Yesu ng’atuuse,bw’atyo
N’atununula mu nsi eno ey’ekikolimo(Ky’okufa)
Lw’alizaalibwa Omwana,okuva mu ggulu gy’ali
Y’oyo ye yekka alitununula,tumukkirize
Y’oyo ye yekka alitununula,tumukkirize.
4
Lw’alikomawo – Lw’alikomawo aliba-mu-ntebbe y’Obulokozi
Tulitwalibwa – Tulitwalibwa awali-Kitaffe gye yategeka
Eri gy’ali – Eri gy’ali mu-Kitiibwa

Leave a Reply