Hymn 338: NALYOKA NE NKUSENGA GGWE Lyrics

Oluyimba 338: NALYOKA NE NKUSENGA GGWE Lyrics

 

OLUYIMBA 402: MUNNAFFE OYO AWUMUDDE
1
MUNNAFFE oyo awumudde
Avudde mu nsi ey’ennaku
Agenze mu nsi ey’essanyu
Atulese ffe-eno mu nnaku.

Weraba,weraba,
owummule/emirembe
owummule ggwe n’emirembe.

2
Munnaffe oyo awumudde
Asomose-omugga gw’ensi
Atuuse-emitala weeri
Ye annyuse ku mulimu ggwe

Weraba,weraba,
owummule/emirembe
owummule ggwe n’emirembe.

3
Kristo ye yafa n’azuukira
Tulizuukira-era naffe
Fenna abeesigwa be
Tulina essubi-eryo bulijjo.

Weraba,weraba,
owummule/emirembe
owummule ggwe n’emirembe.

4
Ffe abasigaddewo ku nsi
Twerongoose mu bulamu
Katonda bw’alituyita
Tugende gy’ali mu kitiibwa

Weraba,weraba,
owummule/emirembe
owummule ggwe n’emirembe.

5
Ka tuyimbenga nnyo bulijjo
Anti-okukkiriza kwaffe
Abo-abafiira mu Kristo
Babeera nga balamu gy’ali.

Weraba,weraba,
owummule/emirembe
owummule ggwe n’emirembe.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *