Hymn 334: NAKOLA NNYO NAYE SAAGASIBWA Lyrics

Oluyimba 334: NAKOLA NNYO NAYE SAAGASIBWA Lyrics

 

OLUYIMBA 4: MUKAMA WAFFE BULIJJO
1
MUKAMA waffe bulijjo,
Mu linnya lyo tutanule,
Tukole-emirimu gyaffe;
Twagala n’okumanya ggwe.

2
Tukolenga by’oyagala,
Tubeerenga mu maaso go,
Tulabe n’omukisa gwo,
Era tukusanyukire.

3
Amaaso go gatulaba:
Mukama otuzibire,
Tukuwe n’emyoyo gyaffe,
Tukole by’otulagira.

4
Era tubeere-abaddu bo,
Tutunule,tusabe nnyo,
Tukwatenga-amateeka go,
Tuwulire-ebigambo byo.

5
Kyonna kyonna kye tulina,
Yesu,kikyo so si kyaffe,
Tubeere naawe bulijjo,
Tutambule mu kkubo lyo

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *