Oluyimba 333: OMUKWANO GWA YESU Lyrics
OLUYIMBA 399: MMWE-ABANTU MU MUMUWULIRE
1
MMWE-abantu mu mumuwulire
Amalooboozi muyimuse,
Ensana muziwuube nnyo,
Ozaana waggulu mu ggulu!
2
Awo-Yesu bwe yasembera,
Okumpi ne Yerusaalemi,
N’atuma-abayigirizwa;
Ozaana waggulu mu ggulu!
3
N’agamba ntiMugendo nno
Babiri okuyingira
Mu kyalo kiri mu maaso
Ozaana waggulu mu ggulu!
4
-Amangu ago,eneerabika;
Endogoyi ng’esibiddwa;
Kale mugisumulule
Ozaana waggulu mu ggulu!
5
Bagenda-okugoberera
Endogoyi-era n’akaana,
Yesu ne bamutuuzaako,
Ozaana waggulu mu ggulu!
6
Awo Yesu bwe yayingira
Mu kibuga-ekitukuvu,
Abantu baayogerera
Ozaana waggulu mu ggulu!
7
-Omwala wa Yerusalemi,
Ng’edda bwe kyawandiikibwa,
Leero Kabaka wo ajja
Ozaana waggulu mu ggulu!
Leave a Reply