Oluyimba 321: BWE NTAMBULIRA MU KKUBO Lyrics
OLUYIMBA 388: ENSI ZONNA ZIYIMBE
1
ENSI zonna ziyimbe
Okumanyisa
Obukama bwa Yesu,
N’obulungi bwe
Buli bantu bayimbe
Ennyimba-ez’ettendo lye.
2
Ensi zonna ziyimbe,
Mu buvanjuba,
Mwe muviira bulijjo
Enjuba yaffe,
Amatendo ga Yesu
Gabune mu nsi zonna.
3
Ensi zonna ziyimbe,
Mu nsalo zaazo,
Mu bizinga wala nnyo,
Ne mu bibira;
Mu musana n’empewo,
Munaalanga-amatendo.
4
Ensi zonna ziyimbe
Yesu Kabaka.
Wonna wonna wabune,
Ettutumu lye:
Tumusinze ye yekka
Ow’emirembe gyonna.
Leave a Reply