Oluyimba 320: KINO KYE NSIIMA-ENNYO Lyrics
OLUYIMBA 387: OMWANA GW’ENDIGA
1
OMWANA gw’endiga,
Gwe-eyatufiirira,
Twesigenga okufa kwo okw’omuwendo;
-Omulokozi waffe,
Ne mu mibiriizi zo,
-Enfumite mwe muli-obuddukiro waffe.
2
Omwana gw’endiga
Mu musaayi gwo-omwo,
Mwe tuteekera ddala-emitima gyaffe,
-Otutukuzenga
Tube balongoofu,
Mu nsi-efuukafuuka-otuwanirirenga.
3
Omwana gw’endiga
Ggwe eyatufiirira
Wazuukira n’oddira mu kitiibwa kyo
Ggwe mmere-ey’obulamu
-Otuliisenga fenna,
Obeerenga mu ffe,naffe tube mu ggwe.
4
Omwana gw’endiga
Ggwe-osaanide wekka,
Ku Nnamulondo ya Katonda Kitaffe
Okuva-edda n’edda,
Wabeeranga bumu
N’Omwoyo Omutukuvu bwe Busatu.
Leave a Reply