Oluyimba 317: ABATAMBUZE,BAYITA Lyrics
OLUYIMBA 384: SIKUKULU EYASOKA YAJIRA ABASUMBA ABALUNDA
1
Sikukulu eyasoka yajira abasumba abalunda,
Ekisibo kyabwe ekyendinga,Malayika naja ekiro nagamba:
Sikukulu,Sikukulu Kabaka azalidwa lero.
2
Batunula nebalaba Emunyenye eyaka mubuvanjuba,
Emunyenye ku nsi ekitibwa kingi,Era nomusana nga gwaka mungi:
Sikukulu,Sikukulu Kabaka azalidwa lero.
3
Bwebala emunyenye eyo,Abagegezi nebava wala nyo,
Emunyenye kugigoberera,Kabaka oyo okumusinza:
Sikukulu,Sikukulu Kabaka azalidwa lero.
4
Emuyenye eyasembera Ebeserekemu neimirira,
Era oluvo kweyaberera, Mukifo Yesu weyazazikibwa:
Sikukulu,Sikukulu Kabaka azalidwa lero.
5
Nebaingira abasatu abo,Nebamutonera ebirabo byabye,
Zabu nobubane nomugavu,Nga bavunama nobuwombefu:
Sikukulu,Sikukulu Kabaka azalidwa lero.
6
Kale nafe tumusinze,Tumutendereze Mukama wafe
Eyakola egulu nensi,Eyanunula abantu nomusai
Sikukulu,Sikukulu Kabaka azalidwa lero.
Leave a Reply