Oluyimba 314: MUJJE MWEKKA KYAMA MUWUMMULE Lyrics
OLUYIMBA 381: AYI KATONDA OGIKUUME
1
AYI Katonda ogikuume
Ensi yaffe-eno Uganda;
Naffe-abantu-abagirimu
Otuwenga omukisa.
2
Kitaffe ow’omu ggulu,
Ggwe-eyatonda-ensi n’abantu
Ebimera-era n’ensolo,
Buli kintu wakitonda.
3
Otuwenga omukisa
Ffe abantu ba Uganda;
Ekisa n’obulungi bwo,
Bituukirirenga mu ffe.
4
Obakuume abafuzi
Okutukulemberanga;
Babeerenga-ab’amazima
Mw’ebyo bye banaakolanga.
5
Ffe-abantu abagirimu
Mu mawanga ne mu bika;
Tukusaba kimu kyokka:
Otuwe-okwagalananga.
6
Ne mu buvubuka bwaffe,
Mu maanyi gonna ag’ensi
Mu buggya n’obutamanya,
Ayi-Katonda,tukuumenga.
Leave a Reply