Oluyimba 302: EKISA KYO TEKITEGEEREKEKA Lyrics
OLUYIMBA 370: MU BUYINIKE-OBUNGI
1
MU buyinike-obungi
Bwe tuba tufiiriddwa,
Bannaffe be twagala,
Otusanyuse Yesu.
2
Naye-oluusi tukaaba;
Olw’obunafu-obungi
Essuubi litubuze;
Otuyimuse Yesu.
3
Bwe tweraliikirira
Ne tuggwaamu amaanyi,
Byonna nga kizikiza,
Otusaasire Yesu
4
Oluusi bwe tukuvuma
Era nga twerabidde,
Okwagala kwo-okungi,
Otusonyiwe Yesu.
5
Ka tuyimuse-emyoyo
Era nga twolesebwa
Ekitiibwa mu ggulu,
Naffe tulituukayo.
Leave a Reply