Oluyimba 301: KATONDA WANGE BYE NKYAMA Lyrics
OLUYIMBA 37: OMWAMI W’EKITIIBWA KYONNA BWE YAJJA KU NSI
1
OMWAMI w’ekitiibwa kyonna bwe yajja ku nsi,
Abakopi n’abagenyi baamweyuna mangu,
Bwe baalaba nga basinza ne bamalayika
Baayimba:Ssanyu,ssanyu, ssanyu nnyo,
Tumutende,Omwami waff(e) era Omwami wammwe.
2
Kale tumutende tumusinze wa kitiibwa,
Azze leero tumulabye Mwami waffe ddala,
Amaloboozi gaffe n"aga bamalayika
Baayimba:Ssanyu,ssanyu, ssanyu nnyo,
Tumutende,Omwami waff(e) era Omwami wammwe.
3
Abatonde bonna wonna baana ba Katonda,
Mutegeere-obulokozi bwaffe bwe tutenda,
Mutunuulire mwenna, tumusembeze fenna,
Baayimba:Ssanyu,ssanyu, ssanyu nnyo,
Tumutende,Omwami waff(e) era Omwami wammwe.
Leave a Reply