Oluyimba 300: OMWOYO N’OMUBIRI Lyrics
OLUYIMBA 369: BAWEEREDDWA-ABAFU
1
BAWEEREDDWA-abafu
Bonna-abeebakira
Mu mukama waffe,
Kuba bawummula.
2
So,nga basanyuka;
-Okulaba n’amaaso
Gwe baali baagala
Nga tannalabika!
3
Katonda-asangula
Amaziga gaabwe;
Abawa-essanyu lye
Erituukiridde.
4
Ffe tubakaabira
Fenna ku ntaana-eno
Nga tulowoozezza
Ku mikwano gyaffe.
5
-Ekiseera kitono
Naffe-alituyita,
Okwetaba nabo
Emirembe gyonna.
6
Obudde bulikya,
Nammwe-,eddoboozi lye
Muliriwulira:
Mwenna muzuukuke.
Leave a Reply