Hymn 297: BYE TUKUWA BIVA GY’OLI Lyrics

Oluyimba 297: BYE TUKUWA BIVA GY’OLI Lyrics

 

OLUYIMBA 366: OBUDDE BWE BWAWUNGEERA
1
OBUDDE bwe bwawungeera
Abalwadde bajja gy’oli,
Baatuuka nga balumwa nnyo
Ne badda nga basanyuka.

2
Naffe leero tuzze gy’oli,
Emyoyo nga gituluma;
Tetukulaba n’amaaso,
Naye tumanyi nga wooli.

3
Ayi-Yesu otusaasire,
Ffe-abaana bo,tulwadde nnyo
Endwadde nnyingi-ez’emwoyo
N’ennaku zitusanze nnyo.

4
Abamu tebakwesiga,
Babuusabuusa ne batya;
Abalala bazze-ennyuma,
Ne beerabira-erinnya lyo.

5
Tewali n’omu alina
Omwoyo oguteredde;
Kubanga bonna boonoonyi;
Tewali mutuukirivu.

6
Mukama otukomeko,
Mu ndwadde zaffe-otuwonye;
Nga-ab’edda bwe bajja gy’oli
Ne bawonyezebwa bonna.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *