Oluyimba 296: OMPISE,MUKAMA Lyrics
OLUYIMBA 365: EDDA MU NSI ABAYUDAAYA
1
EDDA mu nsi-Abayudaaya
Bwe baatambulanga
Omukono gwo-ogw’amaanyi
Gwawonya-abalwadde:
Bamuzibe n’abalema
Baakweyunanga ggwe;
Gy’oli abanaku bonna
Basanyusibwanga.
2
Abo be wakomangako
Mu kisa kyo-ekingi
Baafunanga obulamu
-Essanyu n’emirembe:
Okulwala-era n’okufa
Byonna byaddukanga
Ne leero jjangu gye tuli
N’ekisa kyo-ekingi.
3
Naffe tukwegayiridde
Ggwe-agaba-obulamu;
Otuwonye-endwadde zaffe
Ezituteganya;
Ez’omubiri n’omwoyo:
Tuwonyeze ddala,
N’abo bonna abeetaaga
Bawonyezebwenga.
Leave a Reply