Oluyimba 295: MUKAMA BWE YAMGGAMBA NTI Lyrics
OLUYIMBA 364: EDDA BONNA ABALWADDE
1
EDDA bonna abalwadde
Baakunoonyanga Yesu,
So tewali n’omu-eyadda
Awatali kuwona.
Otuwulire ggwe Yesu,
Ffe abakukaabidde.
2
Abanaku n’abakooye,
Abalwala n’abafa;
Bakyetaaga-Omulokozi,
Obawonyeze ddala.
Otuwe ggwe bye twetaaga
Okuliisa-abayala.
3
Bonna-abzitoowereddwa
Ebibi bajje gy’oli,
Obatikkule-emigugu.
-Ebibazitoowerera.
Emibiri era-emyoyo
Yesu,-obiuule bibyo.
4
Obuyinike n’endwadde
Byombi bwe biriggwaawo;
Abakaaba balitenda
Ne basuuta-erinnya lyo;
Yesu,Omusawo waffe,
Beera wakati mu ffe.
Leave a Reply