Hymn 294: EKISA KYA YESU Lyrics

Oluyimba 294: EKISA KYA YESU Lyrics

 

OLUYIMBA 363: KATONDA MU GGULU
1
KATONDA mu ggulu,
Ggwe-otukuza byonna;
N’okwagala kwo-okw’ensusso
Tukuza-ennyumba-eno

2
Mwe tukakasibwa
Nga tubatizibwa,
N’okunaazibwako-ebibi,
-Olw’ekisa kyo-ekingi.

3
Kristo ye kennyini,
Mw’aliisiza-ababe
-Omubiri n’Omusaayi ggwe,
Ye mmere y’obulamu-.

4
Abantu-aboonoonyi,
Mwe basaasirirwa;
Bonna-abfiira mu kibi,
Mwe basonyiyirwa.

5
Amaanyi g’omubi
Gawangulwa mangu;
Bwe gakoona ku nnyumba-eno,
Kubanga ntukuvu.

6
-Ettendo libe-eri ggwe,
Kitaffe n’Omwana,
N’Omwoyo-Omutkuvu,
Emirembe gyonna.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *