Oluyimba 293: KAAKANO TWEBAZA Lyrics
OLUYIMBA 362: YESU YE ANJAGALA
1
YESU ye anjagala,
Bw’atyo bwe yayogera:
Abaana-abato babe,
Be yawa-omukisagwe.
Ayagala nze,ayagala nze,
Ayagala nze;yayogera bw’atyo.
2
Yesu fenna-atwagala;
Yafa-okutununula,
Yatuggulira-oluggi,
Atusonyiwe-ebibi.
Ayagala nze,ayagala nze,
Ayagala nze;yayogera bw’atyo.
3
Yesu ankulembera
Gye naagendanga yonna;
Tandekenga-,alintuusa
Mu ggulu nga njaguza.
Ayagala nze,ayagala nze,
Ayagala nze;yayogera bw’atyo.
Leave a Reply