Oluyimba 290: YESU-AMANYI BWE MBEERA Lyrics
OLUYIMBA 36: OBUDDE BWALI BWA TTUMBI
1
OBUDDE bwali bwa ttumbi,
Bwe baaluwulira;
-Oluyimba lw’ab’omu ggulu
Abaatendereza:
Emirembe gibe ku nsi
N’ettendo mu ggulu:
Ensi yali nga-esirise
Okuluwulira
2
Ne leero bajja bwe batyo
Eggye-ery’omu ggulu
-Eddoboozi lyabwe libuna
Mu bbanga ery’ensi;
Newankubadde nga bangi
Tebaluwulira;
Eggye eryo likyaliwo
Nga litendereza.
3
Emitawaana egy’ensi
N’enkaayana zaayo,
Ebyo byonna bitugaana
Okuluwulira.
Oba nga tulina-ennyombo
Tunaayinza tutya,
Okuwulira-ebigambo
Bya bamalayika?
4
Kabaka ow’emirembe,
Ggwe-omanyire ddala
Abantu bwe bategana
Mu bigambo by’ensi:
Osirise-olukaayano,
Olw’ensi, tulyoke,
Tuwulire-oluyimba-olwo
-olwa bamalayika.
Leave a Reply