Oluyimba 289: YESU YAJJA ALOKOLE Lyrics
OLUYIMBA 359: WULIRA-OKUSABA KWANGE
1
WULIRA-okusaba kwange
Okw’omwana wo-omuto nze,
Ekisa kyo okimpenga,
Bulijjo,bulijjo.
2
Saasira-obunafu bwange
Obw’omwana wo-omuto nze;
Ekisa kyo okimpenga,
Bulijjo,bulijjo.
3
Sonyiwa-ebyonoono byange,
Ng’obinaaza n’omusaayi,
Ogw’Omulokozi Yesu,
Bulijjo,bulijjo.
4
Ne mu maanyi ga Ssetaani,
Lokolanga-omwoyo gwange;
Wulira-okusaba kwange,
Bulijjo,bulijjo.
5
Kkiriza omwoyo gwange
Ggwe nkuwadde-okugukuuma;
Nsanyusanga n’ekisa kyo,
Bulijjo,bulijjo.
6
Olw’obwesigwa bwo bwonna
Ayi-Katonda Onnyambenga;
Mbeefe gy’oli omwesigwa,
Bulijjo,bulijjo.
Leave a Reply