Hymn 282: YESU NJIJA GY’OLI Lyrics

Oluyimba 282: YESU NJIJA GY’OLI Lyrics

 

OLUYIMBA 352: KIGAMBO KYA MAGERO NNYO
1
KIGAMBO kya magero nnyo
Eky’Omwana wa Katonda;
Okuva mu ggulu n’akka
Alokole-abaana nga nze.

2
Kya mazima yayagala
Abaana n’abanyoomebwa;
Yayagala-abamukyawa
Yattibwa balokolebwe.

3
Okwagala kwe kungi nnyo
Okutayogerekeka,
Okwagala-omubi nga nze,
Nange kirungi mwagale.

4
Oluusi nfumiitiriza
Ne ndowooza-omusaalaba,
Emisumaali n’amaggwa
Yesu nga bw’afa ku lwange.

5
Singa nnaliwo ng’attibwa,
Sandiyinzizza kumanya
Okwagala kwe-okungi-ennyo
Kwe yalina mu mwoyo gwe.

6
Kaakano nnyinza-okumanya
Nga bw’anjagalira ddala,
Naye ekinkwasa-ensonyi
Ye-engeri nze gye mwagala.

7
Ggwe Mukama wange Yesu,
Ombeere mu mwoyo gwange
Nnyongere-ennyo-okukwagala
Emirembe n’emirembe.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *