Oluyimba 279: MUKAMA GGWE NGABO YAFFE Lyrics
OLUYIMBA 35: ABAKRISTAAYO BOONA-AB’OMU NSI
1
ABAKRISTAAYO bonna-ab’omu nsi
Mugolokoke leero n’essanyu
Mutendereze Omulokozi
Eyazaalirwa-e Beesirekemu:
Bamalayika be be baasooka
Okutendereza Omwana oyo.
2
Bo baasooka okukibuulira
Abasumba-abo abawombeefu;
Nti temutya,kubanga-olwa leero
Azaaliddwa-Omulokozi wammwe:
Leero Katonda kye yasuubiza
Kituukiridde: Yesu ye azze.
3
Awo ekibiina ne kirabika
Eggye lyonna-erya bamalayika
Nga bayimba oluyimba-olugya,
Nga batendereza okwagal
Okwamuleeta okuzaalibwa
N’obuwombeefu obwenkanidde-awo.
4
Nabo bwe baamala-okuwulia
Amangu ago ne bagolokoka,
Ne bagendayo mbiro nnyingi nnyo
Balabe Katonda kye yakola;
Ne basanga Omwana we Yesu,
Ne bamusinza n’essanyu lingi.
5
Naffe twanguwe-okugulumiza
Ekisa-ekingi-eky’Omulokozi;
Tujjukirenga-ekisa kye kyonna
Ekyamuleeta-okutufiirira;
Bwotutyo bwe tunaamuyimbira
Kabaka waffe-ow’olubeerera
Leave a Reply