Oluyimba 274: SIYINZA,AYI-OMULOKOZI Lyrics
OLUYIMBA 345: AYI MUKAMA WAFFE
1
AYI Mukama waffe,
tuzze mu maaso go;
Tusembeze n’ekisa kyo
Ffe-abaana bo-abato.
2
Tuwaayo ssaddaaka
-Ey’okwebaza kwaffe;
Okkirize-ettendo lyaffe
Lye tuleeta gy’oli.
3
Tujjuze-okwagala
Mu buzibu byaffe;
Era-otuyigirizenga
Twagale-erinnya lyo.
Leave a Reply