Oluyimba 272: KITAFFE-ATWAGALA FENNA Lyrics
OLUYIMBA 343: NSANYUKIRA EKIGAMBO KINO
1
NSANYUKIRA ekigambo kino
Yesu Mukama atwagala nnyo:
Alina bingi ebisanyusa;
Naye-ekisinga nti Nze kwagala.
Anjagala,anjagala;
Nga kitalo (o)kunjagala!
Anjagal(a) olw’ekisa kye,nange era mmwagala.
2
Bwe mba nnyonoona ne mmwerabira,
Yesu tandeka kubula ddala:
Ampita mangu-okumweyuna ye;
Era-anjijukiza-okwagala kwe;
Anjagala,anjagala;
Nga kitalo (o)kunjagala!
Anjagal(a) olw’ekisa kye,nange era mmwagala.
3
Bwe nditunuulira-ekitiibwa kyo,
Ndiyimuba ntya,bwe siyimba bwe ntyo?
Nnyimba emirembe n’emirembe,
Yesu kiki-ekyakunjagaza nze?
Anjagala,anjagala;
Nga kitalo (o)kunjagala!
Anjagal(a) olw’ekisa kye,nange era mmwagala.
4
Anjagala,nange mmwagala ye:
Yakka mu nsi plw’okwagala kwe;
-Okwagala kwamuleeta ku muti;
Yesu atwagala ffe bwagazi.
Anjagala,anjagala;
Nga kitalo (o)kunjagala!
Anjagal(a) olw’ekisa kye,nange era mmwagala.
Leave a Reply